Search for:
Byabangi (cover) – Iryn Namubiru

Byabangi (cover) – Iryn Namubiru

Download Song : 7.08 MB

Byabangi (cover) Lyrics

(Verse)

Mukwano!
Ebiseera byomala eyo bingi nyo, nga sikulaba
Manya nti oluusi! Waliwo ne lwenkuloowoleza ebibi, byotanakola
Kati nkugambe ki kyotanalaba
Nze ataagende Ku police ne mpaaba
Ngezaako, okukwesonyiwa
Akasiimu ne nkalinda ne nkoowa
Wano lumu obuude bwewumba
Ne ntunula ku saawa ne mpunga
Ng’eno ne baanobo bayomba
Tukulinda tulye nga tenawola
Naye, bwoberayo yoona gyoli mukwano

(Chorus)

Kimanye, nti ebyo ebizimbe byona mwewetalira byabandi
Ng’ate era ne banyinibyo bangi
Nga n’olusi, bababanja
Byabangi
Ebyo ebizimbe by’abaloodi, buli ayagala yapangisa
Ebyo byabangi
Okwo kwekuba ne ziloogi, buli ayagala neyebaka
Byabangi
Nga neyiyo ojjirekawo wano, eri na mugate topangisa
Ebyo byabangi
Ebyo ebizimbe byomukibuga aah, buli ava eri ne ngatoze
Byabangi
Munange okomangawo ewaka, wano yegwe boss tokyungibwa

(Verse)

Dala naye, kunyumirwa ki okwo ddala okwomujuzo gwabangi
Nga n’ebisinga byolina wano eyo tebiriyo, ndowoza muffa zilangi
Mazima okyakalirayo otya eyo, gyotagambe nti kankyuseko ku saati
Nga wano nebwolisaba e taayi
Oba ka juice ne ka kyaayi
Nabakuzukukira mutuumbi
Woyagalira nebakujurira
Nojiira, n’osaba otuuzi
Era batyo nebakufukirira
Kale no nolwekyo bwobera gyoli mukwano

(Chorus)

Kimaanye, nti ebyo ebizimbe byona mwewetalira byabandi
Ng’ate, ne banyinibyo bangi
Nga n’olusi, bababanja
Byabangi
Ebyo ebizimbe by’abaloodi, buli ayagala yapangisa
Ebyo byabangi
Okwo kwekuba ne ziloogi, buli ayagala neyebaka
Byabangi
Nga neyiyo ojjirekawo wano, eri na mugate topangisa
Ebyo byabangi
Ebyo ebizimbe byomukibuga, buli ava eri ne ngatoze
Byabangi
Munange okomangawo ewaka, wano yegwe boss tokyungibwa
Ebyo byabangi

(Bridge)

Tekyalibade kibi naye ate munange, oli munsi yo
Naye ekintu ekibi kulemerayo ng’ate gyoli, tolina wuuwo
Gwe bino byobaayo nob’eyo
Kimanye naffe tubaayo eno
Emboozzi zemunyumya eyo
Naffe zitunyumirayo eno
Gwe bino byobaayo nob’eyo
Kimanye naffe tubayo eno
Emboozi zemunyumya eyo
Naffe zitunyumirayo eno

(Outro)

Gwe bino byobaayo nob’eyo
Kimanye naffe tubayo eno
Emboozi zemunyumya eyo
Naffe zitunyumirayo eno
(A nick product)

About “Byabangi (cover)

“Byabangi (cover)” is the acoustic version of Chosen Becky’s 202 hit song “Byabangi” performed by legendary singer Iryn Namubiru. Iryn released the cover on YouTube on August 27, 2024 with the message, “Exactly how i would like to calmly deliver a powerful message to a loved one!”. Myko Ouma played the guitar on the cover. The video was directed by Matex Starkid with D’nock behind the camera.

Artist(s): Iryn Namubiru
Release Date: August 27, 2024
Writer(s): Rebecca Kukiriza
Producer(s): Myko Ouma
Country: Uganda

Share “Byabangi (cover)” lyrics

Genres

Q&A