Muntu Wange – Vivian Mimi
Muntu Wange Lyrics
(Intro)
Pawaz Entertainment
Gwagaana
Grey Town
Gwagaana
(Verse)
Muntu wange bw’oba olumwa
Nange eno mba nnumwa
By’oyitamu eyo binkosa
Gwe bw’okaaba nze eno gajjula
Omukwano gwo gwe gummala amaanyi
Ate era gunzizaamu amaanyi
Buli lwentunula ku kifaananyi
Nebwemba nafuwa nziramu amaanyi
Buli lw’obulawo mbeera mugonvu
N’obulamu buba bumpi ssi buwanvu
Yeggwe antukuza okukira ku kyovu
Gwe ba omuhusband mbe omuwife
(Chorus)
Manya nditambula naawe nga sitidde
Oli mu mutima munda mw’otudde
Kuba nkimanyi bangi baby b’osudde
Bali mu maziga bateredde ntende
Omanyi omutima gwagaana
Gwagoba abalala gwagaana
Omutima gwagaana
Gwagoba abalala gwagaana
(Verse)
Ndikwesibako ppaka ku lunaku lw’embaga
Obasinza omukwano obasinza n’esswagga
Tuliba butoola nga luggi na ppata
Bali tubatebuke abo tebatufata
Ebitaala byantadde
Yeggwe Katonda gw’ampadde
Nkusaba ne lw’olwadde
Mbe omusawo wo bw’oba ng’okyagadde
Kuba nkumanyi
Ddala baby nkumanyi
Ebikunyiga n’ebisanyusa mbimanyi
Kuba nkumanyi
Ddala baby nkumanyi
Ebikunyiga n’ebisanyusa mbimanyi
(Chorus)
Manya nditambula naawe nga sitidde
Oli mu mutima munda mw’otudde
Kuba nkimanyi bangi baby b’osudde
Bali mu maziga bateredde ntende
Omanyi omutima gwagaana
Gwagoba abalala gwagaana
Omutima gwagaana
Gwagoba abalala gwagaana
About “Muntu Wange”
“Muntu Wange” is a song by Ugandan singer Vivian Mimi. It was written by Liam Voice (real name Zisabusolo Willy), produced by Greytown, and released through Pawaz Entertainment on December 16, 2023.