Search for:
Gw’asembayo – Ntaate

Gw’asembayo – Ntaate

Download Song : 3.51 MB

Gw'asembayo Lyrics

(Verse 1)

Tuleme kwerabira mangu
Nti mukama tatulekulira
Nti era amaanyi galina
Bwoja eyo ayita nago
Tuleme kwerabira mangu
Nti byetuwulira abiwulira
N’obulumi bw’oyitamu
Ammala kubupima
Oba obusobola

(Chorus)

Tulwazanga twemulugunya
Twefulira ddala abatergeera
Embeera okusinga oyo
Eyagissa mu nkola
Tufiirwanga twekubagiza
Twefulira ddala abalumiddwa
Okusinga oyo taata atulaba mu bulumi
Nga naye tulina kusaba
Nti kyetukozeko tukoze
Naye ate gw’asambayo
Okusalawo kwo mukama
Tewaliyo akuddamu
Tujanjabye tufubye
Naye ate ggwe asembayo
Obusawo ggwe mukama
Tewaliyo abuvuganya

(Verse 2)

Tuleme kwerabira mangu
Nti omulabe ye amulabisa maaso (amulaba na maaso yeee)
Nti era amulabisa maaso
Era amulaba wayimiride
Nga akukuba obusaale
Tuleme kwerabira mangu
Nti yabuyimiriranga mu maaso
Nga ggwe oli eri olya butaala
Anti osomose okufa nokuziyira

(Chorus)

Tulwazanga twemulugunya
Twefulira ddala abatergeera
Embeera okusinga oyo
Eyagissa mu nkola (okusinga ye)
Tufiirwanga twekubagiza
Twefulira ddala abalumiddwa
Okusinga oyo yesu atulaba mu bulumi
Nga naye tulina kusaba
Nti kyetukozeko tukoze
Naye ate gw’asambayo
Okusalawo kwo mukama
Tewaliyo akuddamu
Tujanjabye tufubye
Naye ate ggwe asembayo
Obusawo ggwe mukama
Tewaliyo abuvuganya

(Outro)

Kyetukozeko tukoze
Naye ate ggwe asembayo
Okusalawo kwo mukama
Tewaliyo akuddamu
Tujanjabye tufubye
Naye ate ggwe asembayo (yeggwe nantameggwa, aaah, yeggwe kabaka)
Obusawo bwo gwe mukama
Tewaliyo abuvuganya
Kyetukozeko tukoze
Naye ate ggwe asembayo (taata wange)
Okusalawo kwo mukama (sweet wange)
Tewaliyo akuddamu
Ffe tujanjabye tufubye
Naye ate ggwe asembayo (ngezaako naye ate gw’asembayo eno)
Obusawo bwo gwe mukama
Tewaliyo abuvuganya
Ntaate

About “Gw'asembayo

“Gw’asembayo” is a gospel song written and performed by Gabie Ntaate. The song was produced by Ellion King and released on May 4, 2019.

Artist(s): Ntaate
Release Date: May 4, 2019
Producer(s): Ellion King
Publisher Ntaate
Country: Uganda

Share “Gw'asembayo” lyrics

Genres

Q&A