Wanimba – Dr Lover Bowy
Wanimba Lyrics
(Intro)
Love
Dr. Lover Bowy
Hit Tower we di problem
Hahaha, Aban on my beat
(Verse 1)
Ononsonyiwa okulemerako
Njagala omanye gyendi nkusubwa nnyo
Bambi naawe sonyiwa banno
Nkwagala nnyo dear toguyita muzannyo
Tonkoowa yenze munno wo
Yeggwe nali mmanyi omusawo w’obwongo
Bwe guba musango bambi gunsinze
Obuzito ku mutima siikulimbe bunnyiye nze
Okundeka nazza gwaki ka taata?
Nga ngobye mukwano gunnemye okwata
Mpulira bubi mukwano inside
Bwotokomawo nja kukola suicide, lwaki?
(Chorus)
Lwaki wannimba?
Munnange ng’ate tonjagale
Ku mulyango ne nsigala ne nninda
Munnange lwaki wannimba?
Hmmm, lwaki wannimba?
Aaah ah ah ng’ate tonjagale
Ku mulyango ne nsigala ne nninda
Munnange lwaki wannimba, lwaki?
(Verse 2)
Nkukubira amasimu
Mu mutima gwo guma obeere omugumu
Ekifuba ekifumitibwa amafumu
Ne bwe ndifa dear nfuuke omuzimu
Omukwano gwo buzito bwa mmeeri
Nze ndikola ekipakasi nkube amataffaali
Ndikutonera ebikomo by’ebbeeyi
Oyaka okira amataala ga Benz
Love yankuba nga munwe gwa ttaba
Ngitunulako nga kalimi ka ssaawa
Akubye ssimu yenze gwe wakyawa
Ngikubye kwetonda yadde mmanyi wankyawa
But am sorry
(Chorus)
Lwaki wannimba?
Munnange ng’ate tonjagale
Ku mulyango ne nsigala ne nninda
Munnange lwaki wannimba?
Hmmm, lwaki wannimba?
Aaah ah ah ng’ate tonjagale
Ku mulyango ne nsigala ne nninda
Munnange lwaki wannimba, lwaki?
(Verse 3)
Ononsonyiwa okulemerako
Njagala omanye gyendi nkusubwa nnyo
Bambi naawe sonyiwa banno
Nkwagala nnyo dear toguyita muzannyo
Omukwano gwo buzito bwa mmeeri
Nze ndikola ekipakasi nkube amataffaali
Ndikutonera ebikomo by’ebbeeyi
Oyaka okira amataala ga Benz
Love yankuba nga munwe gwa ttaba
Ngitunulako nga kalimi ka ssaawa
Akubye ssimu yenze gwe wakyawa
Ngikubye kwetonda yadde mmanyi wankyawa
But am sorry
(Chorus)
Lwaki wannimba?
Munnange ng’ate tonjagale
Ku mulyango ne nsigala ne nninda
Munnange lwaki wannimba?
Hmmm, lwaki wannimba?
Aaah ah ah ng’ate tonjagale
Ku mulyango ne nsigala ne nninda
Munnange lwaki wannimba, lwaki?
(Outro)
Hahaha, Aban on my beat
About “Wanimba”
“Wanimba” is a popular Ugandan song written and performed by singer Dr. Lover Bowy (real name Kawalya Isaac). The song was produced by Aban Beats and released on May 17, 2024 through Hit Tower Music.